Bukedde ku Sande Home Advertise Here
Search:  
Advanced Search in the Archive
   Discussion Board | Archive | Advertising | About Us | Staff |  Contact Us  
 BUKEDDE | ORUMURI | RUPINY | ETOP | SUNDAY VISION | BUKEDDE KU SSANDE
OMUKO OGUSOOKA

AMAWULIRE

EKIROWOOZO

EBBALUWA

EBYEMIZANNYO

EBYEDDIINI

ENSI EGUDDE EDDALU?

OKUTUNUULIRA AMAWULIRE

BUKEDDE BANNYANIKE

ZIRABAMUZAALE

TUWAYE

MANYA GY’OVA

EMBOOZI

Bebe Cool ayagala obukadde 2,000

Omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya nga yeetegereza okugulu kwa Bebe Cool e Nsambya. Ku ddyo’musawo ng’ayamba Bebe Cool okutambula.

Bya Joseph Mutebi

OMUYIMBI Bebe Cool asabye Pulezidenti Museveni obukadde 2,000 bwe buwumbi bw’ensimbi bubiri ng’agamba nti zino z’ensimbi z’agenda okufiirwa mu bbanga ery’emyezi ena ly’agenda okumala nga tayimba.

Kino kiddiridde Pulezidenti okugenda mu ddwaaliro e Nsambya okulambula ku Bebe Cool n’amubuuza ekyavaako okumukuba amasasi n’amuteegeza nga basajja be bwe bamukubidde obwereere amasasi agamutuusizza okufukka omulema kati.

Bebe yagambye nti ku Lwokutaano lwe baamukuba amasasi enkeera ku Lwomukaaga yali alina ekivvulu e Moyo kya bukadde 10, Feb 6-7 nabadde ne Promotion ya Uganda Waragi ne UTL, eggandaalo lya paasika abadde n’ekivvulu e Kiwatule, , Nakivubo, T.1, n’ekya Emma ne Abitex .

March mbadde n’ebivvulu 28 okwetooloola Masaka nga muno mwokka nnina okufunamu obukadde 500, Feb 25 mbadde nnina okuyimba mu bivvulu bya Ssemakula ne Chameleon era bansasulako. Mu April yekka nalina ekivvulu ekya African Carnival ng’ekitono ennyo nali waakufunamu obukadde 200 ekigenda okuwagirwa aba Bell ne UTL, olwa ndimaze nga ng’enda Sweden , Denmark ne Girimaani buli kivvulu nga baakunsasula paundi 12,000/- olwo nneengatteko ebivvulu bya Ssengo bisatu e Bungereza gye nandifunye ddoola 18,000 buli kivvulu.

Mu Amerika mbaddeyo n’ebivvulu munaana nga buli kimu kya doola 8,000 ng’ate kuno totaddeeko ebivvulu bye nnyimbiramu okuva ku Mmande okutuuka wiikendi ng’omwo mwokka nsobola okufunamu buli wiiki obukadde 20.

Mu kiseera ky’ekimu omumyuka wa Pulezidenti Polof Gilbert Bukenya agenze ku kitanda e Nsambya n’alambula ku Bebe Cool n’anenya omuserikale eyamukuba amasasi.

Agambye nti okusinziira ku ky’alabye, eyamukuba amasasi yamuli kumpi nnyo ekiraga nti alinga eyayagala okumalawo obulamu bw’omuntu.

“Ne bwe wandibadde omusajja ono ng’omukubye luyi, ye ng’omutendeke teyandikukubye masasi genkanidde wano” Bukenya eyabadde omunyiikaavu bwe yayogedde.

Bukenya eyatuuse mu ddwaaliro ku ssaawa 8:05 ez’amalya g’ekyemisana yatunnulidde Bebe Cool n’agamba nti: “Omusajja yali akututtidde kuba nze bwe nakulaba ku ttivvi nga baakakukuba amasasi natya nnyo.

Dr. Martin M. Nsubuga yannyonnyodde Bukenya engeri omulwadde waabwe gy’alimu era n’amugumya.

Wabula Bukenya asabye Bebe Cool okufuna akaseera nga bamusiibudde agende awummuleko ne Bebe n’akkiriza era n’agamba nti agenda Amerika eri nnyina.

Yamuwadde ebbaasa era n’amusuubiza okudda okumulambula ssaawa yonna. Yagambye abamujjanjaba bamulabirire bulungi kuba wa mugaso nnyo nga omuyimbi era omuvubuka omuto eggwanga limwetaaga.

Amangu ddala Bukenya nga yaakafuluma waadi , Bebe abasawo baamuzzizzaayo mu ssweeta okumulongoosa omulundi ogwokutaano.



Published on: Saturday, 6th February, 2010

Email this article to a friend.

© Copyright The New Vision 2000-2010. All rights reserved.