Bukedde ku Sande Home Advertise Here
Search:  
Advanced Search in the Archive
   Discussion Board | Archive | Advertising | About Us | Staff |  Contact Us  
 BUKEDDE | ORUMURI | RUPINY | ETOP | SUNDAY VISION | BUKEDDE KU SSANDE
OMUKO OGUSOOKA

AMAWULIRE

EKIROWOOZO

EBBALUWA

EBYEMIZANNYO

EBYEDDIINI

ENSI EGUDDE EDDALU?

OKUTUNUULIRA AMAWULIRE

BUKEDDE BANNYANIKE

ZIRABAMUZAALE

TUWAYE

MANYA GY’OVA

EMBOOZI

Ebyama mu bufumbo bwa Judith Babirye ne bba

Mw. Niiwo bba wa Judith Babirye eyamugaana okukola enviiri

Bya Basasi Baffe

OMUKWANO gw’omuyimbi Judith Babirye gwatandikira mu kalyolyongo nga ako akabadde mu bufumbo bwabwe.Babirye yategeezezza Bukedde nti akoze kyonna ky’asobola okugumira ebizibu era abasumba bangi okuli ne Dr. Joseph Sserwadda bagezezzaako okubatabaganya naye bigaanyi kye yavudde asalawo aviire omusajja.

Kyokka n’entandikwa y’omukwano gwabwe nayo teyali ncamufu nnyo era efaananira ddala n’obufumbo bwabwe bwe bubadde. Mu mwaka 2006, Babirye mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde Ku Ssande, yattottola akawonvu n’akagga engeri gye yasisinkanamu bba ne batuuka n’okukola obufumbo era yannyonnyola bwati:

Mu mwaka 2000 bwe nali ntongoza olutambi lwange olwasooka olwa Wambaatira ku Victory Church eya Paasita Joseph Sserwadda, Samuel (Niiwo) y’omu ku bawagizi bange abajja.

Bwe nava ku siteegi, Sam yajja okumpi wendi n’ang’amba nti Judith ng’omanyi okuyimba ate nange nnyumirwa nnyo ennyimba zo, yansaba essimu yange n’ang’amba nti yali ayagala okulaba nga nkulaakulanya ekitone kyange.

Saalonzalonza kugimuwa kubanga nali mu butuufu njagala nnyo okuyimba n’okukulaakulanya ekitone kyange.

Mu 2001 yafuuka mukwano gwange mpolampola nga buli kimu tukikola fenna era nga tutambula ffenna.

Twatandika okusaba ffenna mu kiseera ekyo nazuula nti yali ammanyi nnyo kyokka ng’abulako kimu kubeera kumpi nange asobole okunneetegereza era n’omukisa nagumuwa. Twamala emyaka ebiri nga tuli ba mukwano era nga buli kimu y’akimpa.

Kyamutwalira emyaka ebiri okung’amba nti anjagala anti mu 2003 nali ne mukwano gwange, Sam n’ankubira essimu n’ansaba tugende ffembi ku kyemisana. Nakkiriza era yantwala mu kafo akamu e Kololo akayitibwa Thai kyokka buli kaseera Sam yabeeranga antunuulidde nga buli lwe nsitula amaaso aba aganjegese.

Kino kyandaga nti Sam yali anneegwanyiza, kyokka waayita akaseera katono n’akyatula nti ‘Judith, I want to Marry you’ mu kiseera ekyo byansobera (wadde yali amaze emyaka ebiri ng’amulaba). Namusaba ampeeyo akaseera Mukama yali agenda kumbuulira kye nali nnina okumuddamu.

Namubuzaabuza okumala akaseera nga buli lw’andaba ambuuza wamu n’okunzijukiza kye yali yansaba, namala omwaka mulamba nga mmubuzaabuza kyokka teyakyusa mu mbeera wadde okulema okumpa obuyambi.

Kino kyannyongera okumwegomba era mu mwaka 2004 bwe yankubira essimu ng’anzijukiza kye yansaba sijjukira bulungi bigambo bye naddamu wabula nali mmaze okugonda era mu 2005 twafumbiriganwa mu bufumbo obutukuvu.

Tulina omwana omu Li anointed Niiwo era ssaawa yonna ng’enda kumwongera abaana Katonda b’ategese okumuzaalira” bwatyo Judith Babirye bwe yanyumiza Bukedde KU Ssande nga October 1, 2006 .

Kyokka mu kiseera kino by’ayogera ku bba Samuel Niiwo Babirye agamba bwati:

“Omwami ono abadde mwenzi lukulwe gattako okubeera omutemu era ng’ampeeweenyula emiggo kumpi buli lunaku ate ng’ankubira mu bantu.

Nze mbadde mukyala mugumiikiriza nnyo kubanga okuva lwe nafumbirwa omusajja oyo ntulugunyizibwa, nga nze nsasula ennyumba mwe tusula, nze ndabirira abaana be b’azaala ebbali.

Niiwo alina obukambwe obubi ennyo kuno nga kw’ogasse ejjoogo eriyitiridde ng’andeetera bamalaaya be ne banvuma enkya n’eggulo kyokka nga bwe njogerako ankuba bukubi.

Ebbuba alina ppitirivu nnyo ng’andeka ansibidde mu nnyumba buli lw’aba ayagala okukola obwenzi bwe, yali yanzigyako essimu yange nga y’agirina era ng’omuntu anjagala alina kusooka kwogera naye, nga nze sirina kyama.

Sserwadda owa Victory Church by’agamba: “Ebintu by’amaka bwe bityo bwe biba mubaamu ebizibu bingi, mu kiseera kino Babirye akyalina obusungu bungi naye mmanyi nti bw’anakkakkana tujja kubatuuza tubabuulirire kubanga bino bibaswaza n’ekkanisa yonna okutwalira awamu.

Kituufu Babirye yantuukirira enfunda eziwera n’andoopera bba okumutulugunnya n’obwenzi era na batuuza ne mbabuulirira ne baddamu okukwatagana. Nze ng’omusumba siyinza kukoowa kubuulirira bantu baba basowagannye nti era ne ku mulundi guno nnina esuubi nti bajja kuddamu okutabagana.

Obuzibu bwe ndaba ku Mw. Niiwo, kw’asinziira okukuba Babirye emiggo, bulabika buva ku bivvulu gy’agenda okunoonnya ssente oluusi obudde obudda eka mu bwangu ne bumukwata olwo ye (Niiwo) ne kimuyisa bubi.

Published on: Saturday, 6th February, 2010

Email this article to a friend.

© Copyright The New Vision 2000-2010. All rights reserved.