|
Bya Hannington Nkalubo
ABASUUBUZI mu Kisenyi bali mu maziga omuliro bwe gukutte ne gusaanyaawo ebyuma ne sitoowa zonna ezibadde zikubyeko kasooli n’ensawo z’obuwunga eziwedde ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi.
Gwatandise ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo mu kibangirizi ky’ebyuma ekitunudde mu katale ka Ovino akapya.
Omu ku baafiiriddwa emmaali yonna, Safina Nakazzi yagambye nti tasigazza wadde ennusu. “Sitoowa ebaddemu ensawo z’obuwunga 200, kasooli ne ofiisi omuli kompyuta ne ssente enkalu naye byonna byaweddewo,” Nakazzi bwe yagambye.
Ate Julius Karuhanga yabadde ne kkiro za kasooli 10,000 ze yabadde aguze okukubamu obuwunga nga zibalirirwamu obukadde 29 kyokka byonna byatokomose.
Issa Kabunga yagambye nti omuliro gwabalemeredde kubanga gwabadde mungi era ne poliisi wadde yatuuse mu budde naye tewali bintu bye yasobodde kutaasa.
Ate Kifumuka Biyinzika yagambye nti baafiiriddwa emmaali ebalirirwamu obukadde 800 kubanga ekifo kibaddemu ebyuma bisatu, sitoowa ezisoba mu 20 n’amaduuka ag’enjawulo ssaako ofiisi.
Basaba Gavumenti ebadduukirire kubanga emmaali yonna yaweddewo era basigadde mu bbanga.
Kansala w’ekitundu kino, Salim Uhuru yagambye nti gwavudde ku firiigi eyalekeddwa ku masannyalaze. “Amasannyalaze tegaabaddeeko kyokka bwe gaakomyewo awo entabwe we yavudde,” Uhuru bwe yagambye.
Published on: Saturday, 6th March, 2010
|