|
Bya James Kabengwa
ABANTU 16 baggyiddwa mu ttaka mwe baazikibwa ku Mmande e Bududa ate abalala 871 be balinze okusengulwa oluvannyuma lw’amaka gaabwe okusaanyizibwawo ettaka ly’ensozi ezaabumbulukuse nga n’abalala bali mu kutya nti essaawa yonna nabo libagwira olwa nnamuttikwa w’enkuba afudemba.
Mu kiseera ky’ekimu, kkolera azinze enkambi y’e Mpologoma awabudamye abadduse ekibabu ky’e Bududa.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ofiisi ya Katikkiro wa Uganda kyategeezezza nti wakyaliwo okutya nti ettaka lyandiddamu okubumbulukuka mu kitundu kino n’ebirala olwa nnamutikwa w’enkuba afudemba.
Kaabuyonjo zajjudde n’abantu batya okuzigendamu nga batya okubagwira olw’amazzi, amasomero mukaaga gaggaddwa, tawuni y’e Nampologoma eyanjaaliddemu amazzi kyokka mwe muli abantu abaddusiddwa ekibambulira.
Published on: Saturday, 6th March, 2010
|