|
Muwanguzi kati akozesa ssimu okufera
Bya Musasi wa Bukedde
NABBI William Muwanguzi bw’alabye abagoberezi bongera okumuddukako oluvannyuma lw’okukitegeera nti abakolamu bukozi ssente tali ku bya ddiini, kwe kufumba omutwe n’aleeta akakodyo k’okukozesa essimu abafune.
Muwanguzi kaakati akolagana n’amakampuni agaweereza obubaka obuwandiike ku ssimu obumanyiddwa nga ‘SMS’ n’aweereza abantu obubaka ng’abatiisa ng’Omukama bw’amulaze ebifa ku bulamu bwabwe omuli n’okuba nti boolekedde agazibu bw’atyo n’abayita bagende gy’ali.
Omuwala Sarah Nansansi omu ku baagudde mu katego ka Muwanguzi yategeezezza nti, “Ndi muyizi mu S.5 mu ssomero erimu mu Kampala. Essimu yange ya UTL abamu gye bayita Mango [0712……] kwe nasanze obubaka obuva ewa Muwanguzi obwampise okugenda gy’ali e Mengo ku Holy Fire Ministries International. Bwabadde bugamba nti, “Mukama alina by’andaze ku bulamu bwo obwolekedde okubengeya kubanga wabuuka eddogo era obuzaayo ennaku ntono ofe. Ky’olina okukola jjangu ewange abukulongooseze. Nze W. Muwanguzi. Ebisingawo kuba essimu eno.”
Attottola nti mu kiseera ekyo yasobeddwa n’alinnya emmotoka eyamutuusizza e Mengo kyokka bwe yatuuseeyo abayambi ba Muwanguzi ne basooka okumuggyako 20,000/- okumulaba nti ate bwe yamutuuseeko naye n’amuggyamu 50,000/-.
Okunoonyereza okwakoleddwa omusasi wa Bukedde kwazudde nti Muwanguzi asinga kukozesa nnamba za UTL era abantu abaziriko abaweereza obubaka obw’engeri eno obufaanagana olwo abangu ne bamunoonya ate abamanyi nti yeenoonyeza ssente bo tebebufaako.
Omu ku bayambi ba Muwanguzi yategeezezza nti okuweereza obubaka baba bayamba kutegeeza abalina ebizibu basobole okusabirwa.
Wabula kyazuuse nti obubaka obuweerezebwa ku buli mulundi bubeera bufaanagana eri abantu ababufuna ekiwa ekifanaanyi nti bwa bulimba kubanga abantu kizibu okufaanaganya ebizibu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Henry Kalulu yategeezezza nti poliisi etandise okunoonyereza ku bubaka buno obuwandiike okukakasa oba ddala Muwanguzi y’abuweereza.
Published on: Saturday, 6th March, 2010
|