|
Paasita Muwanguzi azze na nkuba mpya ku kiweebwayo
Bya Benjamin Ssebaggala
PAASITA Muwanguzi eyakazibwako erya Kiwedde akyusizza enkuba, eyali paasita kati Nabbi ebiweebwayo mu kkanisa ye birimu emitendera okuli eky’okukkiriza, eky’obuwanguzi, eky’olukale wamu ne ssaddaaka gye bateeka mu bbaasa etakka wansi wa mitwalo etaano so nga teriiko kkomo.
Muwanguzi owa Holy Fire Ministries eyali e Namulanda mu mwaka oguwedde yafuna ebizibu ebitali bimu, ekkanisa n’agikyusa n’agizza e Mengo. Mukyala we Fina Muwanguzi y’akulembera okusaba olwo bba n’alyoka alinnya ekituuti oluvannyuma. Okusaba kwa Ssande ewa Muwanguzi kwagenze bwe kuti:
Fina Muwanguzi: Oli mu Holy Fire Ministry International ekulirwa Nabbi Muwanguzi omusajja Katonda gw’ayise mu kyasa kino. Ebiseera ebimu bwe tuyita mu bizibu twerabira nti tulibeerako obulungi mu maaso. Yesu yakemebwa era n’amala ennaku 40 nga talidde naye teyaterebuka, olumu bw’obeera tolina kyakulya awaka okemebwa naye ggwe tokemanga Mukama Katonda wo ekyo mwandikikubiddeko mu ngalo ez’amaanyi kubanga kigambo kinene nnyo. (Bakuba ez’omwanguka)
Abapya abazze mumaze okuyingira mu bunnabbi obw’okuwonyezebwa, ogenda kufuuka omukisa eri abalala.
Katonda ng’anaakuwa omukisa tekyetaagisa kiseera kinene. Mmwe mulina omukisa nti musobola n’okukwatako mu ngalo za Nabbi naye ggwe akwata mu ngalo za Nabbi n’akuteekako n’emikono, tokwekanga era tokugiranga Katonda gwe yafukako amafuta.
Situka oweeyo mu nnyumba yange nange naggula amadirisa n’ofuna. Nnaawa abaana bo ne by’okola omukisa. Njagala buli muntu aweeyo, saagala osubwe mukisa guno waayo kinene kubanga Katonda munene ate naawe oli munene. (Abantu basimba ennyiriri kumpi kuggwa mu bifo okuwaayo. Nabbi Muwanguzi we yalinnyidde ku kituuti ng’akuumibwa abantu mwenda).
‘Zibiriza wumba engalo zo tusabe, siriikirira osabe Katonda akuwe omukisa’. Yakkaatirizza nnyo eky’okuzibiriza n’okuwumba engalo era wano we yayitidde mu bagoberezi abaabadde bajjuza kkanisa ng’omukulu alambula ennyiriri z’abaserikale ku paleedi.
Oluvannyuma lw’okuyita mu bagoberezi, abantu abamu baatandise okuleekaanira waggulu ng’abatembeddwa emizimu. Nga bakkakkanye, yayise abalina obujulizi ne batandika okubuwa ng’ayogera ebitammuka amugoba n’amutegeeza nti genda olikomawo ng’ofunye obujulizi obutegeerekeka.
Yayimirizza abawa obujulizi n’alagira basituke basabe nga bayimba. Wakati mu luyimba n’ayingiramu “Basika mmunyeenye na mikisa mu ngalo zo buli ssente z’okwata zikuyitamu, tolina mukisa mu bulamu bwo olwaleero gikomawo. Muweeyo ekiweebwayo eky’okukkiriza.
Oluvannyuma yattukizza okubuulira:
Bw’oba oyagala okumanya nti olina zaabu omusuula mu asidi bw’atafa abeera mulamu. Ke muyingidde wano mumaze okuyita mu asidi. Ebizibu bibadde bikwetoolodde nga tomanyi ani anaakuyamba naye olwaleero waliwo ekyamagero ky’ogenda nakyo.
Ffe tetukyalina batutiisatiisa abaserikale, weebali amagye ne poliisi buli akutiisa mugambe nti omutima gwange mugumu’.
Yazzeemu okubalagira bazibirize basabe n’addamu okubayitamu ng’abalambula olwazze ku kituuti n’abalagira baweeyo ekiweebwayo eky’obuwanguzi ne bazitwala.
Ng’okusaba kuggwa yabalagidde banone ebbaasa ey’okuteekamu ssaddaaka. “Munone ebbaasa zino, ze nsabidde togizannyisa, tokkiriza muntu mulala yenna kugikwatako. Ataasobole kuweza 50,000/- totawaana kuginona. Twagalamu etaano n’okudda waggulu ow’akakadde oba obutaano tetumugaana ogikomyawo wano obutasukka Lwakubiri.
Buli eyafukiddwaako amafuta togenda nga tomaze kutuukako wano waliwo eky’enjawulo ky’olina okuwaayo olw’amafuta ago. Nga mugenda, Mukama Katonda abakulembere akuwe omukisa mu mirimu gyo ne mu maka go. Kiwedde mugende mirembe.
Published on: Saturday, 25th July, 2009
|